Abavubuka 14 abagambibwa okubeera abawagizi b’ekibiina ki National Resistance Movement abavunaanibwa ogw’okubba n’okukuba abantu ku nguudo zomu Kampala, basiindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 16 July,2025, lwebanadda mu kooti.
Abavunaanibwa bagguddwako emisango gyanjawulo gyebaddiza ku nguudo ezitali zimu mu Kampala, nga kigambibwa nti baali bava ku wofiisi za NRM ku Kyadondo road, president Yoweri Kaguta Museveni, bweyali agenze okwewandiisa n’okunonayo empapula z’okuddamu okwesimbawo okuvuganya ku bwa ssentebe bwa NRM mu ggwanga lyonna, n’okuweebwa bendera y’ekibiina okuvuganya ku bwa president bwa Uganda mu kalulu akajja aka 2026.
Bino byonna byaliwo ku Saturday nga 28 June, 2025.
Abavunaanibwa basiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Doreen Ainembabazi owa Law Development Centre mu Kampala, nebegaana emisango.
Waliwo abavunaaniddwa okukuba omusajja ku Yusuf Lule Road n’okubba essimu 2.
Abalala kigambibwa nti babba essimu ekika kya Sumsung okuliraana ekitebe kya Ministry of Health, abalala baakuba omusajja ku Kyadondo Road, nebamubbako essimu ye n’ensimbi enkalu emitwalo 220,000.
Abawawabirwa bano baakwatibwa ku butambi camera za police ezokunguudo, n’obulala obwasaasaanira omutimbagano, nga baali baambadde Tshirt eza kyenvu, okwetoloola Kampala, nga mulimu abayizi ku matendekero agenjawulo, abagoba ba bodaboda, ba makanika, ababazzi n’abalala.
Omuwaabi wa government Patricia Cingtho, ategeezezza kooti nti okunoonyereza kwonna ku misango egivunaanibwa abavubuka bano, kwakomekkerezeddwa.
Wabula ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NRM Dr.Tanga Odoi agambye nti wadde abavubuka abo baali baambadde obujoozi obwakyenvu, nti naye sibawagizi baabwe.
Bisakiddwa: Betty Zziwa












