• Latest
  • Trending
  • All
Empaka za UMEA Solidarity Games 2025 zigguddwawo – ziyindira ku Namagabi SS

UJCC esabye government okukozesa olunaku lw’okutambuza omusaalaba 2025 – esse essira kukulwanyisa enguzi, eyimbule n’abasibe abaasibwa olw’ebyobufuzi

April 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

UJCC esabye government okukozesa olunaku lw’okutambuza omusaalaba 2025 – esse essira kukulwanyisa enguzi, eyimbule n’abasibe abaasibwa olw’ebyobufuzi

by Namubiru Juliet
April 18, 2025
in Amawulire
0 0
0
Empaka za UMEA Solidarity Games 2025 zigguddwawo – ziyindira ku Namagabi SS
0
SHARES
74
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Olukiiko olutaba enzikiriza ezisuuta kristu olwa Uganda Joint Christian Council, (UJCC), luzeemu okuwanjagira government ya Uganda  nabakwatibwako ensonga okulwanyisa ekizibu ky’enguzi ekisukiridde mu ggwanga, nekiviirako emirimu ejimu okutambula akasoobo.

Mu bubaka omusumba wa Kiyinda Mityana, Bishop Anthony Zziwa, era ssentebe woolukiiko olutaba enzikiriza ezisuuta kristo olwa Uganda Joint Christian Council, (UJCC), bwasomedde ku kisaawe kya Old Kampala ku mikolo egyokutambuza ekkubo ly’omusalaaba, agambye nti kikwasa ennaku okilaba abantu nga benyumiriza mu nguzi, sso ng’eyongera kuttattana ggwanga.

Mu kiwandiiko kyabwe ekyabagiddwa  abakulembeze b’eddiinu mu Uganda Joint Christian Council, (UJCC), okuli ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, Ssabasumba wa ekeresiya yaaba Orthodox, Jeronymos Muzeeyi, naakisomye ssentebe woolukiiko lwaabepisikoopi mu ekereziya katolika, era omusumba wa Kiyinda- Mityana, Bishop Anthony Zziwa.

Era bavumiridde ebikolwa eby’okutyoboola obutonde ebisukiridde mu banna Uganda byagambye nti bikoseza obulamu nebyenfuna byeggwanga.

Basabye abakwatibwako ensonga okufuba okumalawo obukuubagano naddala ng’eggwanga lyetegekera okulonda kwa 2026, okutumbula obumu nokwewala okusosola abantu mu biti ebyenjawulo.

Mukusooka ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, nga yaakulembeddemu okubuulira, asabye government okutwala eky’okulabiriko ekiri mu bayibula okukozesa olunaku luno okuyimbulirako abasibe abaakwatibwa naddala ku nsonga zeebyobufuzi, kibeere ekirabo eri eggwanga.

Omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, aweze nti ensonga eno wakujitwala eri mukamaawe, president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa, erowoozebweko.

Abakkiriza mu diini ezenjawulo baakedde okutambula okuva ku bitebe by’enzikiriza zaabwe, n’amasinzizo agenjawulo.

Mu kibuga ekikulu Kampala ewali ebitebe, abakulisitaayo bavudde ku kitebe kyobulabirizi bwe Kampala ekya All Saints e Nakasero, nga bakulembeddwamu Bishop Jackson Fredrick Baalwa ne kukitebe kye Namirembe, nga bakulembeddwamu Bishop Moses Banja.

Abavudde e Namirembe basoose ku ssomero lyabaana abatalina mwasirizi erisangibwa ku Balintuma, batuseeko ku ddwaliro e Mengo, ku Sanyu Babies Home, nebalyoka boolekera Ku kisaawe kya Old Kampala ewategekeddwa emikolo emikulu.

Abavudde e Nakasero bayitidde ku katale kewa Kisekka okutuuka ku kisaawe kya Old Kampala, naye nga bazze bayimirira buli masanganzira nga bwebabulira enjiri.

Abasodokisi bavudde ku kitebe kyabwe e Namungoona nga bakulembeddwamu Ssabasumba Muzeeyi Jeronymos, ate abakatuliki bakulembeddwamu ssabasumba Ssimogerere okuva e Lubaga nga bayitidde ku Lubaga Road, nebatuukako mu bifo byabakateyamba mu Kisenyi, nebalyooka boolekera  Kampala mukadde.

Emikolo gino gyetabiddwako omumyuka wa president Rtd Maj Jessica Alupo, nga yaakiikiridde president, ba minister, ababaka ba parliament abakulembeze mu government ez’ebitundu, bannadiini nabantu baabulijjo abenjawulo.

Abagoberezi ba Yezu Kristu batamuzza ekkubo ly’omusaalaba munsi yonna, nga bajjukira olunaku lweyabonyaabonyezebwa ku mirembe gya Ponsio Piraato, n’akomererwa ku musaalaba ku lusozi e Gologooth.

 

Bisakiddwa: Ddungu Davis 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -