Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde bannabyabufuzi ku kabaate k’okusaasaana kwa Mukenenya mu nkuηηaana z’Ebyobufuzi ,naasaba abakulembeze okufuba okulambika abawagizi baabwe ku okulwaanyisa Mukenenya mu nkambi z’Ebyobufuzi mwebabeera.
Abadde asisinkanye Banna kibiina ki National Unity Platform, abaguze emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa g’Empalabwa gya Bukadde bwa shs 15 ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro abalabudde nti ssinga bannabyabufuzi tebakoma ku bawagizi baabwe abatambulira mu masanyu,siriimu tebagenda kumuwona.
Katikkiro avumiridde ebikolwa eby’effujjo ebyeyolekera mu Kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North, ebyaleka ng’abamu balemadde, kyokka neyeebaza bonna abavuddeyo nebavumirira ebikolwa ebyo.
Amyuka President wa National Unity Platform mu Buganda era Omubaka wa Butambala mu parliament Muhammad Muwanga Kivumbi, asabye nti Emisinde gy’Amazaalibwa g’Empalabwa gifuuke ekitundu ku by’Obulambuzi mu Bwakabaka,kuba gikungaanya enkumi n’Enkumi z’Abantu okuva mu buli nsonda ya nsi.
Akulira Oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’omulamwa gw’okulwanyisa Mukenenya ogwesigamiziddwako emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka.
Mu ngeri yeemu Ssenyonyi yennyamidde olwa government eyawakati okulagajjalira Abasawo n’Ebyobulamu mu ggwanga.
Omubaka wa Kawempe North mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu Erias Luyimbaazi Nalukoola n’owa Lubaga North Abubaker Kawalya, bakukkulumidde abakungu ba government ababulankanya ebikozesebwa mu bujjanjabi, nebabasaba balabire ku Bwakabaka.

Ebyo nga bikyali awo ssentebe w’Olukiiko lw’Amazaalibwa ga Kabaka era Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Haji Dr. Prof Twaha Kawaase Kigongo, asinzidde mu nsisinkano n’Abebyokwerinda mu Lubiri e Mengo, naasaba abaneetaba mu Misinde obutagezaako kukola bikontana na Misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka.
Agambye abateekateeka okujja n’ebipande b’ebyobufuzi bekomeko, babirekeyo ewaabwe.
Amyuuka omwogezi wa police mu Kampala nÉmirirwaano Luke Oweyisigire asabye abagenda okujja mu misinde nÉbibinja byÁbo abeeyita abakuumi obutakikola, kuba kyakutataaganya eddembe lyÁbaddusi ba Kabaka.
Ettendekero lyÁbasawo erya International Paramedical and Nursing Schools Maya liguze emijoozi gya bukadde bubiri, nga emijoozi gibakwaasiddwa minister wÁmawulire okukunga era omwoogezi wÓbwakabaka oowekIsreal Kazibwe kitooke.
Akulira ebyenjigiriza ku Ttendekero International Paramedical and Nursing Schools Maya Joseph Kiwu, aweze nti bakwongera okubangula abasawo abali ku mulembe wamu nokujjanjaba abantu ba ssabasajja kabaka okuyita mu nsiisira z’ebyobulamu.
Amyuka omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro Vicent Kayongo y’ebazizanyo eteendekero lino okwenyigira mu nteekateeka zonna ezobwa Kabaka naddala webituka munsisira z’ebyobulamu.
Mu kusooka kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yasisinkanye ekibiina ekigatta kampuni za Yinsuwa mu ggwanga ki Uganda insurers Association ekiguze emijoozi gya bukadde bwa Uganda butaano, nga bano bakulembeddwamu ssentebe waabwe Ruth Namuli, eyeeyamye okukolagana nÓbwakabaka okubunyisa empeereza ya Yinsuwa.
Mungeri yeemu kitongole kyÓbwakabaka ekyÉbyobulambuzi ki Buganda Tourism and Heritage Board nga kikulembeddwaamu Ssenkulu waakyo Najib Nsubuga kiguze emijoozi 100 okusobozesa abaweereza okweetaba mu misinde, ono abasabye okweewala Mukenenya.
Buganda Royal institute of Technical and business studies nabo baguze emijoozi gya bukadde bwa shs 20.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Nakato Janefer