Abantu 2 nga bakyala bafiiridde mu kabenje akagudde e Mazuba ku luguudo okuva e Iganga okudda e Mbale mu kiro ekikeesezza olwa nga 26 March,2025.
Waliwo abantu abalala 8 baddusidswa mu ddwaliro ly’e Iganga nga nabo bali mu mbeera mbi.
Aberabiddeko ng’akabenje kagwawo bagamba nti emmotoka ya Taxis Drone No. UBJ 358 B ebadde eyisa neyekanga emmotoka endala mu maaso, okukkakana ng’eyingiridde gyebadde eyisa Loole No. UBQ 903 S.

Omwogezi wa Police mu kitundu ekya Busoga East SP Mike Kafaayo agambye nti ddereeva wa Taxi ye adduse era bamunoonya.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred