Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ayanjulidde Obuganda ennambika (Accountability) y’ensimbi ezaava mu nkola ya Luwalo Lwaffe ez’omwaka oguwedde 2024.
Abantu ba Kabaka omwaka oguwedde okuva mu masaza gonna aga Buganda n’ebweru wa Buganda bajjumbira enkola eno, nga bagula Certificates za Buganda era mwavaamu ensimbi 1,686,199,406/=, ensimbi zino zaakira ku zaaleetebwa mu mwaka 2023 ezaali 1,546,719,946/=.
Mu ntebya y’ensimbi zino, Owek. Nsibirwa agambye nti ebyasinga okuyamba enteekateeka eno ekuba ey’omuzinzi kuliko; Okwagala Kabaka okwekimmemmette, Ettutumu lya Buganda mu Uganda n’ebweru, Obwesimbu mu nkola y’emirimu egigasa abantu ba Buganda ne Uganda obutereevu.
Obunyiikivu bw’abaami ba Ssaabasajja ab’amasaza n’eggombolola mu kukunga abantu ba Kabaka, Obukulembeze obunywevu era obuggumivu ku mitendera gyonna, Ebibala ebiva mu nteekateeka za gavumenti ya Kabaka nga; Emmwanyi Terimba, CBS PEWOSA, Ebyenjigiraza, Eby’obulamu n’ebirala.
Mu ngeri yeemu mulimu n’obwerufu mu ntebya y’ensimbi eziva mu nkola ya Luwalo lwaffe.
Owek. Nsibirwa agamba nti ensimbi zino zaasaasaanyizibwa ku bintu nga bwebimenyeddwa wammanga;
1. Omulimu gw’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi gwassibwako ensimbi 137,805,539/= okugula n’okuwanga enzigi n’amadirisa ag’ebyuma, okwongerako essubi, okuteeka emyaliiro egirambika entuula n’okusingira ddala mu Muzibwazaalampanga, n’okuwunda munda n’okusasula Abagiriinya ensimbi zonna.
2. Okudduukirira ensawo ya Kabaka Education Fund, mwassibwamu ensimbi 116,905,042/= nga zino ziyamba ku bayizi mu Mengo school of nursing abaafuna sikaala okusoma obusawo okuva mu masaza ag’enjawulo abaanakola mu malwaliro ga Buganda.
3. Okunnyikiza enkola ya Mmwanyi Terimba, yassibwamu ensimbi 128,323,119/- nga zino zaayambako okubunyisa kaweefube ono mu bantu ba Kabaka, okubasomesa ku nsitula y’omutindo, omuli endabirira, ebijimusa, ennoga, ennyanika, okwagazisa abantu okunywa kaawa n’ebirala.
Mu era Katikkiro yalambula abalimi b’emmwanyi mu masaza okuli Buweekula, Butambala, Kabula ne Mawokota mu Mwanyi terimba.
4. Okuwagira omulimu gw’okuzimba ekizimbe ku ssomero lya Bbowa Vocational Secondary School 108,889,316/=. Omwaka oguwedde wegwaggwerako ng’abayizi beeyongedde okuva ku 119 okutuuka ku 315 songa baluubirira okuweza abayizi 500 omwaka guno 2025.
5. Okuwagira omulimu gw’okuzimba amalwaliro g’Obwakabaka okuli Nyenga mu ssaza Kyaggwe, Busimbi mu Ssingo ne Mukungwe mu Buddu, omulimu gwassibwamu ensimbi 100,000,000/=.
6. Okuwagira enteekateeka za Bulungibwansi ne Butondebwansi omuli okusomesa ku nkuuma y’obutonde, okugula endokwa z’emiti n’okugula ebikozesebwa mu kuyonja ebitundu, omulimu gwassibwamu ensimbi 54,361,393/=.
7. Okuwagira enteekateeka z’ensiisira z’ebyobulamu e Wankuluku, mu Lubiri e Mmengo, Bweyogerere, Busujju, Butambala ne Bulemeezi mwassibwamu enzimbi 193,308,949/= muno abantu ba Kabaka 3738 baaweebwa obujjanjabi ku bwereere.
8. Okuteekateeka n’okukunga abantu okulwanyisa obulwadde bwa siriimu. Mu mbeera eno Obwakaka bwagula piki piki 83 ezaaweebwa abaami b’eggombolola baali baafikkira omulundi guli zibayambeko mu by’entambula okubunyisa amawulire g’okulwanyisa obulwadde bwa ssiriimu, omulimu guno gwassibwamu ensimbi 150,000,000/=.
9. Okukola emirimu mu masaza (Akasiimo k’abaami-Commission) Mu nkola eno, buli ssaza liddizibwa ensimbi ebitundu bisatu ku kikumi okuva ku nsimbi zebaba baleese era ezo zikola ng’akasiimo k’okukunga abantu n’okubayambako okukola emirimu ku masaza omuli okutereeza embuga n’emisaala gyabaweereza abatafuna musaala butereevu kuva Mmengo. Zino zaawera 5,085,982/=.
10. Okukola emirimu n’akasiimo k’abaami ba Ggombolola abakola omulimu gw’okukunga abantu wansi eyo gyebawangaalira okwenyigira mu nteekateeka eno. Buli ggombolola eddizibwa ensimbi ebitundu kkumi ku kikumi ku nsimbi eziba zivuddeyo nga ku luno baaweebwa commission wa 168,619,941/=.
11. Okusembeza ababa bazze mu luwalo omuli okubawa olw’endo lw’amazzi n’ekyemisana. Ssaabasajja Kabaka yasiima okugabulanga abantu be ababa baleese oluwalo mu Bulange era enteekateeka eno yassimu ensimmbi 132,198,033/=.
12. Enteekateeka ya Luwalo lwaffe, Enteekateeka eno evunaanyizibwa butereevu ekitongole kya Majestic Brands era mu mbeera eno bakola ku by’obuyonjo bw’ekifo, weema, obutebe, okutimba, emizindaalo, eby’okwerinda, bannamawulire n’ebirala. Bino byonna byassibwamu ensimbi 79,251,372/=.
13. Okukubisa Certificates, ebbaasa mwezisabikwa, ffuleemu n’envumbo okwewala abafere byonna byassibwamu ensimbi 265,950,720/=.
Minisiter wa Government ez’ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Kawuki yeebazizza nnyo abaami b’amasaza n’eggombolola olw’okukola obutaweera okutuukira ddala ku buli muntu wa Kabaka, olwo n’atuusibwako amawulire agafa embuga ate nabo nebeenyigira butereevu mu kuwagira emirimu.
Ssenkulu wa Majestic Brands ltd Omuk. Remmy Kisaakye agambye nti bateeteese enkola z’okwongera okwekuuma abafere abajingirira Certificates za Buganda nga basuubira nti kino kigenda kwongera ku nnyingiza yaazo
Enkola y’okwanjula entebya y’ensimbi eziva mu luwalo ekolebwa buli mwaka ng’emu ku ngeri y’okunywezaamu obwerufu mu nsaasaanya y’ensimbi za Kabaka.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo.