Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba Namakaka Kyobe Kyomubazzi Kaberenge wamu n’Abamasiga banjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga Omutaka omukulu ow’Akasolya Omuggya Gabunga owa 38 Mubiru Ziikwa V.
Gabunga omubbulukuse ye Ali Mubiru Zziikwa mutabani wa Gabunga 37, Mubiru Zziikwa IV.

Omukolo gubadde ku bulange e Mengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Gabunga omuggya okwebuuzanga ku bakuza n’abazzukulu ku nsonga zonna ezikwata ku mirimu gy’ekika.

Katikkiro era ategezezza Gabunga nti mukama we ow’okuntikko ye Ssabataka era namusaba okufuba okunyweeza n’okutaasa Namulondo.
Omubuze Mubiru Zziikwa IV wakuterekebwa ku lw’okusatu lwa sabiiti eno nga 27 Museenene , 2024 e Sagala Buwaya.#
Bisakiddwa: Ssendegeya Muhammed













