Obwakabaka bwa Buganda buweze nti ssibwakupoondooka ku nsonga y’okukubiriza bannauganda okulima emmwanyi basobole okusitula ebyenfuna byamaka gabwe .
Parliament olwaleero nga 6 November,2024 eyisizza ebbago ly’etteeka ekitongole ky’emmwanyi ekya UCDA nekitwalibwa mu ministry y’obulimi n’obulinzi, wadde nga bannauganda baabadde balaajanira government obutaggyawo kitongole ekyo.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda e Owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa asinziridde ku Wakisha Resources Center mu lukiiko oluteekateeka embalirira ya district ye Wakiso, nagamba nti Obwakabaka bwakusigala nga bubunyisa enjiri y’okulima emmwanyi ey’omutindo, bannauganda baganyulwe wadde bannabyabufuzi bagala kujikotoggera.
Ategeezezza nti Obwakabaka ssibwakupondooka wabula bwakuwagira abalimi b’emmwanyi abeeteeseteese obulungi okwerimira emmwanyi.
Owek Waggwa Nsibirirwa mungeri yemu ategeezezza nga obwakabaka bwebugenda nokuyambako district ye Wakiso okukunga abantu okwettanira enteekateeka eyokufukirira ebirime nga abalimi basasulayo akassente katono okufuna ebyuma ebifukirira .
Embalirira ya district ye Wakiso esuubirwa okulinnya okuva ku buwumbi 122 okutuuka ku buwumbi 144 mumbalira y’omwaka ogujja 2025-2026, ng’essira lyakuteekebwa ku bulimi naddala ekirime ky’emmwanyi.
Dr Matia Lwanga ssentebe wa district ye wakiso naye asinziridde wano nategeeza nti ebisaaliddwawo parliament tebagenda kubalemesa kukubiriza bantu mu Wakiso kwerimira kirime ky’emmwanyi kubanga bisaaliddwawo lwafittina.
Ssenkulu w’ekitongole kya Buganda Land Board Omukungu Simon Kaboggoza Muwanga asabye abakulembeze mu district ye Wakiso okwongera okusomesa abantu babwe naddala mu bitundu ebisingamu enkayaana z’ettaka, okufuna ebiwandiiko ku bibanja byabwe basobole okukendeeza ku muwendo gw’emisango mukkooti ezenjawulo muggwanga.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo