Abakulira eby’obulamu batudde bukubirire okutema empenda ez’okulwanyisa ekirwadde kya Monkeypox zireme kwongera kusaasaana.
Akulira eby’obulamu mu district ye wakiso Dr Emmanuel Mukisa Muwonge agamba nti mu Wakiso bakazuulamu abantu 8 abalina MPox.
Basangiddwa mu bitundu bye Nansana , ku ddwaliro lya Wakiso health center IV , Kyengera Health centre II, e Kira ne mu bitundu by’e Ndejje Kanaaba .
Dr. Brian Odaga okuva mu ministry y’ebyobulamu nga yavunanyizibwa ku nsonga y’okulondoola ekirwadde kino, asisinkanyeemu abakulira eby’obulamu mu Wakiso, nebasalawo nti eddwaliro ly’e Ntebbe Referal Hospital litegekebwe gyebaba batwala abalwadde bonna abazuulibwamu Mpox.
Dr.Odaga agambye nti bakwataganye n’ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna ki World Health Organisation, n’ekitongole kya Uganda virus Resaerch Institute okudduukirira abantu abasangibwamu ekirwadde kino.
Omuntu alina Mpox afuna omusujja ogw’amaanyi, okubutuka omubiri n’ebirala.
Osobola okukwatibwa ekirwadde kino okuyita mu kunywegera omuntu akirina, maama asobola okukisiiga omwana ali mu lubuto, okuyita mu kussa singa oliraana akirina, okukwata mu bintu ebiva mu nkima, emmese, kaamugye n’ebisolo ebirala ebyomuttale.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny