Amalwaliro ga government agawerako agali ku mutendera gwa regional referrals gatubidde n’eddagala eryaayitako emyaka egiwera.
Bino bifulumidde mu alipoota y’akakiiko ka parliament akavunanyizibwa ku kunoonyereza ku nsaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo aka Public Accounts Committee, gyekaakoze oluvanyuma lw’okwekeneenya alipoota ya Ssabalondoozi w’ebitabo bya government ey’omwaka gw’ebyensimbi 2022/2023.
Agamu ku malwaliro gatubidde n’eddagala lino eryaayitako okumala emyaka 8 songa amalala bwegaali gasaanyawo eddagala lino ,tegaalibalirira okuzuula omuwendo gw’ensimbi ezibalirirwa mu ddagala erisaanyiziddwawo ekintu ekikontana n’amateeka.
Amalwaliro amalala ,eddagala eryayitako literekebwa mu store zezimu neddagala erikyaali eriramu
Eddwaliro lya Jinja regional referral hospital litubidde neddwaliro eryayitako Kati emyaka 8 okuva mu mwaka 2016, ekitongole Kya National medical store lyekyaalemwa okunonayo.
Eddagala lino kuliko eriweweza ku kawuka ka mukenenya ARVs neddala kyakafuba TB eribadde mu store z’eddwaliro lino erye Jinja okuva mu mwaka 2016.
Eddwaliro lya Mubende regional Referral Hospital lyawaayo eddagala eriweza kilogram 2,322 litwaalibwe okusaanyizibwaawo wabula teryabalirirwa nsimbi zirijaamu.
Eddwaliro lya Lira regional referral hospital nalyo litubidde n’ekizibu kyekimu ekyeddagala eryayitako songa eddwaliro lya Mbale Regional referral nalyo lirina eddagala eryaayitako eriwerako eritanabalirirwa muwendo gwa nsimbi.
Alipoota y’akakiiko eraze nti ekitongole kya government ekigula n’okutereka eddagala lya government ki National Medical stores ,ekirina obuvunanyizibwa bw’okunona eddagala eriyiseeko okuva mu malwaliro ga government nekiritwala okulyokya tekinarinonayo.#