CBS FM radio ya Buganda esse omukago n’ekitongole ekiyitibwa Tri- Trees okutumbula ómuti oguvaako ekibala ekiyitibwa Bread fruit n’ekigendererwa eky’okugoba enjala, okukuuma ettaka n’okukuuma obutonde bw’ensi.
Braet fruit ekulira ku myaka 3 nga kisobola okukukolebwamu engano mwosobola okukola omugaati, keeki, crisps nébirala, songa kikuuma obutonde bwensi nga kiva mu mawanga okuli America, Canada, Jamaica náwalala.
Omulangira Rev Daniel Kajumba akulembeddemu enteekateeka eno, bwabadde ayanjulira ssenkulu wa Cbs omukungu Micheal Kawooya Mwebe ekirime kino, agambye nti olwókuba CBS yesinga okuwulirizibwa mu Uganda, bakkaanyiza nti yejja okusobola okubunyisa enjiri yékibala eri abantu ba Ssaabasajja basobole okuganyurwa mu migaso egikirimu.
Ssekulu wa CBS Micheal Kawooya Mwebe agambye nti olwékizo ekibala kino gyekirina, balabye nga kikulu nnyo okweyambisa eddoboozi lya CBS okumanyisa abantu gyebasobola okuggya endokwa, okubasomesa okukuuma obutonde bwensi ,era nga bwebimu ku bigendererwa bya CBS ebyémyaka 5 egyiddako okukibunyisa mu masaza ga Buganda gonna 18.
Omuti guno gusimbiddwa mu Lubiri e Mengo ngákabonero akalaga nti gwabyafaayo era gwankizo ddala olwémigaso gyegulina.
Omulangira Rev Daniel Kajumba okuva mu kitongole kya TRI TREES agambye nti bakasimba emiti gino mu Uganda egiri eyo mu 5000.
Agamba nti balina enteekateeka eyókutalaaga amasomero nébitundu ebirala okusimbayo emiti gino ngómu kawefube wókukuuma obutonde bwensi nókugoba enjala mu bantu ba Ssaabasajja.#