Ekitongole kya Uganda Cares kiziimbye ekizimbe ekinene ddala ku ddwaliro ekkulu e Rakai, ewagenda okubudaabudibwa abantu abalina akawuka ka siriimu.
Bw’abadde atongoza ekizimbe kino ssentebe wa district ye Rakai Kaggwa Samuel Ssekamwa agambye nti siriimu yayuzaayuza nnyo amaka agawerako e Rakai, okuviira ddala mu mwaka gwa 1982, wabula kati ebyalo bizze biddamu amaanyi olw’okusomesebwa okugenda mu maaso ku bikwata ku bulwadde bwa mukenenya.
Omukwanaganya w’enteekateeka ya Uganda Cares mu ggwanga Henry Magala agambye nti ekizimbe ekiweereddwayo kya bisenge 8, okusobozesa abalwadde abasukka mu 3000 okwetaaya n’okufiibwako obulungi.
Amyuka RDC we Rakai Andrew Baba Buluba agambye nti kati amaanyi gabeyongedde era bagenda kulabirira bulungi ekizimbe kino, waleme okubaawo obumulumulu bwonna, nga wano wasiinzidde naakubiriza abantu obutekomomma bagende bafune obujjanjabi.
Mu ngeri yemu Uganda Cares ewaddeyo n’obuggali maanyi ga kifuba okuyambako abagenda okubunyisa enjiri y’okulwanyisa siriimu.
Bawaddeyo obuwunga, butto n’ebijanjaalo eri abantu abali ku ddala eriweweeza siriimu.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi