Radio y’Omutanda CBS FM eyozaayozezza nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda MutebI II okutuuka ku matikkira ag’omulundi ogwa 31, ng’atudde ku Nnamulondo ya bajjajja be alamula Obuganda.
Nnyinimu Sseggwanga Ccuucu yatuula ku Nnamulondo nga 31 July,1993, e Naggalabi Buddo mu ssaza Busiro.
Amyuka ssenkulu era nga y’akulira eby’emirimu mu CBS fm omukungu Robert Kasozi ,agambye nti wakati nga obuganda bujaguza emyaka gino 31, ne Radio y’Omutanda ekoze ky’amaanyi mu kumanyisa abantu be obuwangwa n’ennono za Buganda.
Omukungu Robert Kasozi agambye nti wadde nga Buganda eyise mu kusoomozebwa okw’amaanyi mu myaka gino 31, naye Abaganda tebaterebuse kuva ku Kabaka wabwe.
Wano wasinzidde nalabula abavubuka, Kabaka beyakwasa omulembe gwe obutagukozesa bubi, nebigendererwa eby’okusanyaawo Buganda.
Omukungu Robert Kasozi ayongeddeko nti omulimu Ssaabasajja gweyatuma radio ye eno CBS FM mu myaka 28 egiyise, okukunga abantu, okubakulakulanya ,n’okubakuumira awamu egukoze, wadde nga waliwo bannakigwanyizi ate abalwanyisa ebikolebwa radio y’Omutanda.
Anokoddeyo okukunga CBS kwekola mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, okulwanyisa mukenenya, okutandikawo ebibiina by’obwegassi ebikulakulanyizza abantu be,okuwagira emipiira gy’ebika n’amasaza n’ebirala bingi.
CBS fm yagenda ku mpewo nga 22 June,1996.
Omukungu Robert Kasozi agambye nti nga Radio tebagenda kuva ku mulamwa ogwajitandisaawo ,yakusigala ng’eweereza abantu ba Kabaka mu buli mbeera.