Eby’amaguzi ebiyita ku mwalo gwe SeaPort mu ogusaangibwa mu kibuga Mogadishu ekya Somalia buli olukya gweyongera okulinnya, olw’embeera y’obutebenkevu eyeyongedde mu kitundu.
Amagye g’omukago gwa Africa ogukuuma emiremne mu Somalia ogwa African Union Transition Mission in Somalia( ATIMIS) ogulimu amagye ga UPDF, gegabadde gakuuma emirembe mu kitundu ekyo.
Omusirikale wa UPDF Lt.Anthony Matanda omu ku babadde bavunaanyizibwa ku by’okwerinda by’omwalo guno, agambye nti essaawa yonna bagenda kuwaayo obuvunaanyizibwa bwagwo eri government ya Somalia, oluvannyuma lw’okwekennenya nebakakasa nti embeera ezze mu nteeko, era emirimu gyonna egy’eby’obusuubuzi gigenda bukwakku.
Mu nteekateeka y’okwongera okusitula eby’obusuubuzi mu kitundu, oluguudo oluyitibwa 3G lw’ongedde okwanguya ebyentaambula, saako enguudo endala ezirwegattako okuli olwa Gracad, okutuuka e Galkayo, olwa Galdogob,ne Jigjiga.
Lt.Anthony Matanda agambye nti okutwaliza awamu abatujju ba Alshabab bongedde okubafufuggaza, era ng’ebitundu ebisinga obungi bizeemu emirembe, mpozzi mu bitundu ebimu ebikyakosebwa enjawukana mu mawanga.
Bisakiddwa: Nsubuga Alex