• Latest
  • Trending
  • All
Iran yakukungubagira president Ibrahimi Raisi okumala ennaku 5

Iran yakukungubagira president Ibrahimi Raisi okumala ennaku 5

May 20, 2024
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo

May 19, 2025
Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35

Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye

May 19, 2025
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home World News

Iran yakukungubagira president Ibrahimi Raisi okumala ennaku 5

by Namubiru Juliet
May 20, 2024
in World News
0 0
0
Iran yakukungubagira president Ibrahimi Raisi okumala ennaku 5
0
SHARES
212
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Eggwanga lya Iran lirangiridde ennaku 5 ez’okukungubagira abadde President wabwe Ebrahimi Raisi eyafiiridde mu kabenje k’ennyonyi.

President Raisi  yabadde ne Minister w’ensonga z’amawanga amalala Hossein Amir Abdollahian awamu ne minister ow’eby’enguudo n’okukulakulanya ebibuga Mehrdad Bazrpash.

Ebrahimi Raisi asikiddwa Mohammad Mokhber abadde omumyuka we ate ye Hossein Abdollahian  asikiddwa Ali Bagheri amanyikiddwa okulemberamu entesaganya ku nkaayana ezikwata za Nuclear.

Okufa kwa President ne Minisita we nsonga za mawanga amalala kirese eggwanga eryo mu kaseera akazibu naddala olw’enkaayana eziri mu kitundu kya Middle East.

Iran ggwanga lyotayinza kwawula ku nsonga zo lutalo oluyinda mu Gaza, era nga munywanyi nnyo wa Syria, Yemen ne Lebanon.

Iran mu ngeri yemu erina empalana  y’amaanyi ne Saudi Arabia,  nga Iran yekulira ekiwayi kya ba Shia mu Busiramu ate Saudi Arabia n’ekulira aba Sunni abasinga obungi mu Busiramu.

Iran egudde ku kibambulira ky’okufiirwa  abakulembeze abo era erina okusika omuguwa n’abazungu olwe nkola yaayo ey’amasanyalaze ga Nuclear, nga waliwo okutya nti essaawa yonna yandifuna obusobozi obukola ekyokulwanyisa ekya Nuclear.

Ebrahimi Raisi kigambibwa nti yomu ku ba nalukalala abaali bakulembedde Iran, era nga abadde omu ku batunuuliddwa okudda mu bigere byo mukulembeze owo ku ntikko Ayatollah Ali Khamenei.

Raisi abadde mumyuka w’akakiiko ka bantu 88 abalonda Ayatollah addako.

Akakiiko ako akabantu 88 kabeera k’abakugu  abamaanyi mu ddiini ey’obusiraamu era Iran efugibwa ku mateeka ga Busiraamu, oluusi ekigiretedde okulumirizibwa okulinyirira edembe  lyo buntu na ddala ku nsonga za bakyala.

Okunoonyereza ku bubenje bw’ennyonyi Nnamunkanga tekutera kubeera kwangu, nga bwekiri ku nnyonyi nnene zi lugogoma ezibaako akuuma akakwata amaloboozi akamanyikiddwa nga black box, ate nga ne bifaananyi biraga nti akabenje wekaagudde embeera y’obudde nti yabadde etabanguse.#

Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Eyali omujaasi wa UPDF asingisiddwa ogw’okutta Joan Kagezi – asaliddwa emyaka 35
  • Police etaddewo pikipiki ezigenda okuwerekera abalamazi abagenda e Namugongo
  • Ab’oludda oluvuganya balambise ensonga zebagenda okugoberera okulemesa okuyisa etteeka ly’amagye
  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -