Katikkiro wa BugandaCharles Peter Mayiga agugumbudde abantu abefuula nti bagala nnyo obwakabaka nebatuuka n’okulengezza abakulembeeze nga belimbika mukulwanirira Buganda, abayise balabe namba emu.
Katikkiro akinogaanyizza nti waliwo abalowooza nti bategeera ensonga za Buganda okusinga abalala nebawunzika nga bakoze ebittajja.
Asabye abantu mu Buganda okwegendereeza abantu abo nti kubanga bandiba nekigendererwa eky’okunafuya Buganda.
Owomumbuga abadde ku Mbuga enkulu Bulange e Mengo, bw’abaddr atikkula abantu ba Kabaka oluwalo okuva mu ggombolola ezenjawulo abakiise munkola ya Luwalo lwange nga baleese ensimbi ezisobye mu bukadde 35.
Katikiro era yeweze nti siwakuddiriza mu kukunga abantu ba Buganda okubeera obumu n’okujjumbira entekateeka za Buganda zonna, eabula alabudde nti waliwo abagala okuleetawo enjawukana mu bantu, n’agamba nti basaanye okubatunuulira enkaliriza.
Minister wa government ez’ebitundu Owekitibwa Joseph Kawuki ng’akikiriddwa Minister wa Mawulire ,okukunga abantu era Omwogezi w’obwakabaka Owekitiibwa Israel Kazibwe Kitooke, akalatidde abaami ba Kabaka ku mitendera yonna okumanya obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa kibayambeko mu kuweereza Kabaka obulungi.
Abakiise embuga okubadde Hajji Bbosa Juma Mayanja akulira olukiiko lwa Kabulasoke PTC Gomba ne Ssekalegga Frank omwami wa Kabaka atwala eggombolola Ssabaddu Kira beyamye nti bakusigala nga bawagira emirimu gyobwakabaka.
Egombolola ezikiise embuga nezireeta oluwalo kuliko Ssabagabo Lufuuka ereese kakadde 1,720,000/=
Kabulasoke PTC Gomba obukadde 2,000,000/=.
Mutuba XII Kingo okuva eBuddu obukadde 4,940,000/=.
Cbs Fans Club Bulemeezi 1,270,000/=.
Sabaddu Kira okuva e Kyadondo obukadde 13,660,000/=.
Mutuba 10 Ssemuto obukadde 2,000,000/=, Musaale Wakyaato obukadde 4 ,750,000/=.
Mutuba VIII Kikandwa okuva e Ssingo obukadde 4,870,000/= nabalala.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius