Olukiiko lwa Boodi ya ministry y’Obulambuzi mu Buganda lutongozeddwa mu mbuga y’Obwakabaka enkulu e Mengo, neruweebwa ensonga 4 ez’enkizo ezisaanye okukolebwako mu bwangu ddala.
Kuliko enzirukanya y’Ebyobulambuzi evaamu ensimbi , Okukola entekateeka eneesikiriza ebyobulambuzi, okutumbula ekkadiyizo n’Ekkungaanyizo ly’Ebifaananyi , wamu n’Okutereeza Wankaakii w’Olubiri lwa Maasomoogi olwe Mengo.
Olukiiko lwebyobulambuzi mu Bwakabaka lukulemberwa Omuk Benon Ntambi Ggalabuzi,Ssuuna Luutu amyuka Sssentebe
Omuk Kasozi Albert ye ssenkulu w’ekitongole ky’Ebyobulambuzi,
Ba memba kuliko Omuk. John Kitenda
Kaweesi Daniel
Busuulwa Farouq
Omulangira Edirisa Luwangula
Kasozi Jimmy
Nassali Clair
Namuyimbwa Allen
Ssebuggwawo Marvin
Justine Naluzze Ssembajjwe
Omuk. Albert Kasozi
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’abadde atongoza boodi eno agisabye ekole ekisoboka okuteekateeka ebirowoozo byonna ebisobola okuyamba okuleeta ensimbi mu Bwakabaka okuyita mu byobulaambuzi.
Katikkiro era asabye ba memba ku boodi eno okuweereza Obwakabaka nga tebeeganya, kubanga okuzimba Buganda kukwaata ku buli abwagaliza ebirungi.
Minister w’Ebyobuwangwa ,Ennono, Amasiro , Ebyobulambuzi n’ebyokwerinda mu Bwakabaka Owek Dr. Anthony Wamala, agambye nti Ebyobulambuzi mu Bwakabaka bigenda kwongera okutumbuka okusinga bwebyaali bibadde, naasaba ba memba okunyweera.
Agambye nti eby’obulambuzi birina kukwatibwa mu ngeri ya business, okusobola okubifunamu ensimbi.
Ssentebe wa boodi y’Ebyobulambuzi mu Bwakabaka era nga munnabyanjigiriza Omuk Benon Ntambi, ategeezezza nti ebyobulambuzi mu Bwakabaka byakuvuganyiza ddala ku katale k’Ensi yonna, naawa obweeyamo nti Buganda egenda kufuna mu byobulambuzi byabwo.
Bisakiddwa: Kato Denis