Nakyazze Nuriat Kyazze okuva mu ggombolola ya ssabaddu Ntenjeru, awangudde obwa Nnalulungi bw’ebyobulambuzi owa 2024 ow’essaza Kyaggwe.
Essira wakuliiteka kukutalaaga amaggombolola okuzimba abavubuka mu mpisa ez’obuntu bulamu.
Empaka eza akamalirizo zibade ku Brendo hotel mu kibuga Mukono.
Nakyazze Nuriat , addiridwa Nakangu Jesca okuva e Kasawo ate Nassaazi Gloria okuva e Ntenjeru akutte.
Omukungu Ssekabambe Patrick akulira ekitongole ky’ebyobulambuzi, obuwangwa n’ennono mu ssaza Kyaggwe ategezeza nti balina esuubi nti mwaka guno 2024 obuwanguzi bugenda mu Kyaggwe.
Ssekiboobo omuggya Vicent Matovu akiikiriddwa Omumyuka we ow’okubiri Fred Katende era yakwasizza abawanguzi ebirabo omubadde TV, Sente enkalu, ne ebirala
Bisakiddwa: Ssembatya Ismael