Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okunyweza enkolagana yaabwo n’Obulabirizi bwe Luweero, okusitula ebyenfuna n’embeera z’abantu ba Kabaka mu Bulemeezi.
Ezimu ku nteekateeka ezigenda okwongerwamu amaanyi mulimu okunyweeza ebyenjigiriza, Eby’obulamu, eby’obulimi n’okulyoowa abantu Emyooyo nga bwebaalambikibwa Ssabasajja Kabaka.
Bwabadde asisinkanye Omulabirizi we Luweero Kitaffe mu Katonda Wilson Kisekka n’omukyala Nakayaga Kisekka mu Bulange e Mengo,Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti essaza Bulemeezi lyankizo nnyo mu Bwakabaka, naasaba abakulembeze ba Beene bonna okukolera awamu okuzza Buganda ku ntikko.
Omulabirizi we Luweero owookuna Wilson Kisekka mu bubakabwe ategeezezza nti okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka kimukakatako, era namweebaza olw’okwagaliza abantube enkulaakulana eyannamaddala
Mu ngeri yeemu Omulabirizi ategeezezza nti ebibadde bisomooza Obuweereza obwenjawulo mu Bulabirizi babikutte kannabwala neyeebaza abaweereza mu Bwakabaka olwobuwagizi bweyamuwa.
Omwaami wa Ssaabasajja atwaala essaza Bulemeezi Omulangira Kangaawo Ronald Mulondo agambye nti okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa g’Empalabwa kujjumbiddwa, naasaba abatannagigula bagigule.
Obulabirizi bwe Luweero buguze emijoozi gya Bukadde 3 bulimba, ate Omubaka wa Nakaseke Central Allan Mayanja aguze emijoozi gya kakadde Kamu.
Bisakiddwa: Kato Denis