Bannamakolero amanene namatono, bannabibina bya Cbs PEWOSA abalimi nabalunzi wamu nabantu kinomu batandise okwolesa ebyamaguzi byabwe mu mwoleso gwa Cbs PEWOSA Nsindikanjake, oguyindira mu Lubiri e Mengo.
Mulimu okubangula abantu ku by’obulimi, Obulunzi, okutereka n’okusiga ensimbi, Akatale ka Easter, ebyokuzanyisa by’abaana n’ebintu ebirala bingi.
Mulimu aboosezza emmotoka ezitambuza ebireme n’endala eza bulijjo ezisasulwa ku kibanja mpola, abatunda endokwa z’ebibala eby’okunywa, n’ebirala.
Ebitongole bya government ebyenjawulo okuli Uganda Revenue Authority, National Drug Authority n’ebirala nabyo bizze okusomesa abantu ku mpeereza za government ezitali zimu.
Okuyingira mu mwoleso osasula shs 5000/=
Gwakumala wiiki namba, gutandise 27 March guggwa nga 02 April,2024.#