Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni azeemu okulonda John Musinguzi Rujoki nga ssenkulu w’ekitongole ky’eby’omusolo ekya Uganda Revenue Authority URA, ekisanja ekirala kya myaka 4.
Musinguzi yegatta ku URA okuva mu maka g’obwapresident, era nga yali akolanga omuwi w’amagezi ku nsonga z’ebyuma bikalimagezi n’ebyempuliziganya.
John Musinguzi Rujoki ekisanja kye ekyasooka nga ssenkulu wekitongole ki URA ,kyatandika mu March 2020, oluvanyuma lw’okugobwa kweyali ssenkulu w’ekitongole kino Doris Akol.
Alipoota ziraga nti mu kisanja eky’emyaka 4 egiyise, omusolo ogukungaanyizibwa gweyongedde okulinnya okutuuka ku bitundu 50.48%.
Omusolo guvudde ku nsimbi obuwumbi 16,751.64 ezaakungaanyizibwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2019 /2020.
Mu mwaka gw’ebyensimbi 2022/2023 omusolo ogwakungaanyiziddwa gwabadde obuwumbi 25,209.05.#