Omutaka Eng.Daniel Bbosa abadde Lwomwa w’ekika ky’Endiga aterekeddwa ku lusozi Kkulumba e Mbaale Mawokota Mpigi.
Wasoosewo okusaba okwenjawulo; ku ludda olwa klezia okukulembeddwamu Rev.Fr.Claudio Ssewava Sseggoonja avudde mu kigo kya St.Matia Mulumba Nakawuka.
Omusumba Simion Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship naye akulembeddemu okusaba ku ludda olwa pentecostal church, eyebazizza abateesiteesi b’emikolo gy’okutereka Omutaka abakkiriza eddiini ezenjawulo okusabira Omutaka.
Emikolo gy’okutereka Omutaka nga gyesigama ku buwangwa n’Ennono gikulembeddwamu ba katikkiro ba jajja abakata abakulu ab’obusolya mu bika by’abaganda, ab’Emituba 140 n’a masiga 17 agakola ekika ky’endiga nga bakulembeddwamu ow’Essiga lya Ssekasamba e Ppami Mawokota Kabuuka Harunah.
Omutaka Eng.Daniel Bbosa aziingiddwa mu mbugo 150.
Omutaka aterekeddwa mu kinnya kya fuuti 15.
Eng.Bbosa yakubwa amasasi agaamuttirawo okumpi n’amaka ge, bweyali ava ku mikolo gy’essiga lya Ssekoba e Katosi mu Kyaggwe.
Emikolo gyetabyeeko omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek.Prof.Twaha Kawaase, minister w’obuwangwa n’ennono, embiri n’ebyokwerinda Owek.Anthony Wamala, minister w’ebyenjiriza, ebyobulamu e wofiisi ya Nabagereka Owek.Cotilda Kikomeko, minister w’ensonga z’abavubuka, eby’emizannyo n’okwewummuza Owek.Robert Sserwanga, minister ow’ebyempuliziganya mu government eyawakati Owek. Joyce Juliet Nabbosa n’abalala.
Owek Prof. Haji Twaha Kawaase Kigongo yasomye obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, avumiridde ebikolwa eby’ettemu ebyeyongedde mu ggwanga ensangi zino, n’alambika government nti efulumyenga alipoota ezikwata ku ttrmu lino, ng’emu ku nkola esobola okuyambako okubirwanyisa.
Ssaabasajja agambye nti okutemulwa kw’Omutaka kulese eddibu ddene mu Lukiiko lw’Abataka ne mu Bwakabaka bwonna.
Owek Kawaase ku lulwe asabye Lwomwa omuggya Eria Lwaasi Buzaabo okugatta abazzukulu bonna, n’Okukolerera ekika Kyabwe okugenda mu maaso.
Minister w’Ebyobuwangwa Ennono, Embiri n’eby’okwerinda mu Bwakabaka Owek. Dr. Anthony Wamala asaasidde Obuganda olwokuvibwaako Omutaka owenjawulo,era naasaba wabeewo ekikolebwa okulaba nga wabaawo obwenkanya.
Ku lwa government eyaawakati onuzzukulu Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo, atenderezza Omubuze olw’okwaagala Obwakabaka n’Obutayawula mu bazzukulu.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba ng’akiikiriddwa Katikkiro wa Gabunga Fredrick Joseph Mulindwa, yennyamidde olw’obusiwuufu bw’empisa obususse mu bantu, obutuuse n’Okuttisa Omutaka ekibadde tekibangawo mu Kyaasa kino.
President w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Omujjwa Omukulu yaakoze emikolo egy’okuggya ebibamba mu Kika, yazikizza ekyoto, era yaayanirizza Lwomwa Eria Lwasi Buzaabo.#