Olwa leero 21 February, lukuzibwa buli mwaka munsi yonna, okwefumiitiriza ku ngeri ennimi ennansi gyezikozesebwa mu kutumbula obuwangwa n’enkulaakulana.
Olunaku luno lwatongozebwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations Educational, Scientific, and Cultural Organization (UNESCO), mu mwaka gwa1999, nekigendererwa eky’okukubiriza abantu okukuuma ennimi ennansi.
Olw’omwaka guno 2024 lutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okusomesa abantu ennimi zaabwe ennansi, mpagi eyobuyigirize era ekwanaganya obugunjufu mu kutendeka emijiji”.
Okusinziira ku UNESCO abaana ebitundu 40% mu nsi yonna tebasomesebwangako ku nnimi zabwe ennansi era tebazimanyi.
Owek Dr Sauda Namyalo, omusomesa w’ennimi e Makerere University, agamba nti ssinga eggwanga teriteeka ssira ku nnimi zaalyo, teriba na bwetengereze kumanya gyeriraga.
Okusinziira ku ssemateeka wa Uganda, mu Uganda mulimu ennimi ennansi 41, wabula ng’ennimi ezisoba mu 70 zezoogerwamu okuli ennansi n’engwira.
Okunoonyereza kulaga nti Oluganda lwerusinga okwogerebwa abantu abangi n’abalala baluwulira, era ng’abantu abasoba mu bukadde 20 bebawulira n’okwogera oluganda okwetoloola ensi yonna.
Oluganda era lwerumu ku nnimi 9 okuva ku lukalu lwa Africa, ezaagattibwa ku mutimbagano gwa Google, ate nga munsi yonna ziri 27.
Oluzungu lwe lulimi olukozesebwa mu biwandiiko ebitongole ebya Uganda.
Owek Dr Sauda Namyalo, agamba nti kyetaagisa Uganda okwongera amanyi mu kunoonyereza, okusomesa, okukubiriza abatu okwogera ennimi ennansi bweziba nga zaakusigala nga zikuumibwa mu butuufu bwazo, ngamawang amalala bwegakola.
Minister w’ebyobuwangwa, ebyokwerinda, embiri, n’amasiro mu Bwakabaka, era munnabyanjigiriza, Owek Dr Anthony Wamala, agamba nti kisanidde okumanyibwa nti abaana bayigannyo okusoma nga bayitira mu lulimi oluzaliranwa, mukifo kyokubapiika ennimi engwira.#