Ebikumi n’ebikumi by’abamalamazi abakatoliki bikedde kweyiwa ku kiggwa ky’abaminsani ekya Fr. Simoen Loudel Mapeera ne Bro Delmans Amansi e Kigungu mu kibuga Ntebe.
Bajjjukira nga bwe giweze emyaka 145 okuva abaminsani bano lwe baleeta eddiini eno mu Uganda, nga baagobera mu bwato bwabwe ku mwalo e Kigungu.
Buli nnaku z’omwezzi 17/February, abakatoliki okuva mu bitundu bya Uganda nebweru bakunganira ku kifo kino, okujjukira n’okwefumiitiriza ku byaliwo ng’eddiini y’ekikatoliki ereetebwa mu Uganda.
Emikolo gikulemberwamu ekitambiro kya Missa, era Ssabasumba w’essaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemwogerere yakulembeddemu emikolo gy’okujaguza emyaka 145.
Egy’omwaka guno 2024 gitambulidde ku mulamwa ogugamba nti ‘’Ffe ababatize nga tulabira ku buzira bwabajjaffe Mapeera ne Amansi tutambulire wamu nga twenyigira mu mirimo gy’obutume’’.
Wabula newakubadde ng’ekifo kino kyankizo nnyo mu diini yekikatoliki kyafuna okusoomozebwa okwenjawulo, ng’okulumbibwa kw’amazzi g’ennyanja Nalubaale eyabooga, saako abavubi n’abasuubuzi abeesenza ku ttaka ly’ekijjukizo kino nga ettaka ly’ekijjukizo kino eryali lisoba mu square milo 2, kati telikyawera wadde yiika 1.
Abategese emikolo gya leero nga bakulembeddwa Philip Muduni nga ye Sabakristu wa Denary ye Ntebe agamba nti ensonga zino zitunuliddwa nnyo era bagenda kuzanjulira abalamazi basalire wamu amagezi.
Bisakiddwa: Kakooza GeorgeWilliam.