Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula Amasiro ga ba Jjajjaabe , okulaba omulimu gw’okuyooyoota Amasiro ge Kasubi Nabulagala wegutuuse.
Omuteregga asiimye ebikolebwa era agambye nti omulimu guwa essuubi era guzzamu amaanyi.
Ssabasajja Kabaka alambuziddwa Katikkiro w’Amasiro ge Kasubi Nkalubo David.
Wabulaakayole n’Abagiriinya babaddewo.
Nnyinimu alambudde ennyumba Muzibwazaalampanga.
Omutanda era alambudde ennyumba Njagala Kasaayi n’enyumba endala eziri mu masiro e Kasubi.
Amasiro ge Kasubi gaakwata omuliro mu 2010 ennyumba Muzibwazaalampanga omugalamiziddwa ba Ssekabaka n’esaanawo.
Okuva olwo enteekateeka zookugizaawo n’ennyumba endala mu masiro egenda mu maaso.
Gyebuvuddeko mu mwaka 2023 ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyiizibwa ku by’obuwangwa ekya UNESCO kyalangirira amasiro ge Kasubi negagyibwa ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga munsi yonna, era ng’essaawa yonna gakugyibwako engalo eri abantu bonna okutandika okugalambula.
Ebifaananyi: MK Musa