Government efulumizza ensimbi trillion 4.974 ezinaddukanya emirimu mu kitundu kino eky’emyezi esatu ekiddirira ekisembayo eky’omwaka gw’ebyensimbi 2023 /2024, ekyatandise mu January kigwako march 2024.
Ensimbi zino kuliko eziweerezeddwa mu masomero, mu kiseera kino nga getegekera okuggulawo olusoma olusooka olw’omwaka 2024.
Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’ebyensimbi Ramathan Ggoobi y’asomye ennambika y’ensimbi ezifulumiziddwa, omukolo gubadde ku kitebe kya ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga mu Kampala.
Ku nsimbi zino, trillion 1.912 zigenda kukusasula emisaala gy’abakozi ba government.
Obuwumbi bwa shs 249.294 zeziweerezeddwa mu government ez’ebitundu, nga kuliko obuwumbi 136.6 ezigenda okuweerezebwa ku masomero agalimu enkola ya government eya bonna basome owa primary ne secondary.
Amatendekero aga waggulu gaweereddaa obuwumbi 117.567, omuli okugula ebisomesezebwako abayizi, okuwola abayizi abetaaga okuyambibwa okuyita mu nkola ya Student loan scheme n’ebirala
Ekitongole kya KCCA kiweereddwa obuwumbi bwa shs 20 okuddaabiriza enguudo.
Ekitongole ekigula eddagala n’okulisaasaanya mu malwaliro ki National Medical Stores kifunye obuwumbi 90.211 okugula eddagala, saako obuwumbi 57.955 eziweerezeddwa mu malwaliro agali ku mutendera gwa Refferal, saako Cancer Institute ne Heart institute.
Sente endala obuwumbi 550.859 za bitongole bya kwerinda omuli police obuwumbi 71.374, amagye obuwumbi 403.082, ebitongole ebikettera munda mu ggwanga n’ebweru obuwumbi 34.975 saako ekitongole ky’amakomera kifunye obuwumbi 41.427.
Ekitongole kya National Identification and Registration Authority kiweereddwa obuwumbi bwa shs 193 ezigenda okukozesebwa okuzza obuggya ennanga muntu za bannansi.
Enteekateeka y’okugula ebinaakozesebwa mu kubala abantu essiddwamu obuwumbi 144.3.
Akasiimo k’abaaliko abakozi mu bitongole bya government ne government ez’ebitundu kassiddwamu obuwumbi 296.578 ezirina okusasulwa mu kitundu kino eky’emyezi esatu ekiddirira ekisembayo eky’omwaka gw’ebyensimbi 2023 /2024.
Parliament efunye obuwumbi bwa shs 150.962, Akakiiko k’okulonda kafunye obuwumbi bwa shs 9.459, essiga eddamuzi lifunye lifunye obuwumbi bwa shs 44.88.#