Ng’eggwanga lyeteekerateekera okukuza olunaku lw’amenunula olunaku olwenkya nga 26 January 2024,mu district ye Jinja, president Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, azeemu okuwera olutalo ku bulyake n’obuli bwenguzi ngeemu ku nteekateeka y’okutwala eggwanga mu maaso.
President Museveni mukwogerako eri eggwanga ng’asinziirira mu maka g’obwa president e Nakasero, agambye nti eggwanga lisoomozeddwa nnyo olw’enguzi esensedde ebitongole ebyenjawulo omuli n’ababikulira.
Anokoddeyo abakulu abawandiisa abakozi ab’empewo mu bitongole bya government, ekiviiriddeko emirimu okudobonkana ekitagambika.
Asuubizza nti olutalo lw’okulwanyosa enguzi alukutteko kannabwala.
President Museveni era yenyamidde olwa alipoota ya ssabalondoozi w’ebitabo bya government eyalaze obufere mu bitongole bya government, nti kyokka mu kifo kyokuwandiikira abanoonyereza basobole okukwata abagirya ate nti alipoota yagyitutte mu parliament.
President Museveni era aweze nti wakufaafaagana nabagezaako okuyingirira enteekateeka za government ezeenkulakulana n’okutumbula obulimi n’obusuubuzi bw’emmwanyi mu ggwanga.
Bino bijjidde mu kiseera ng’olutalo olw’ebigambo ku mmwanyi lubadde lwamanyi ddala ku mitimbagano emigatta bantu naddala kumukutu ogwa X eyali Twitter, ng’abamu ku balimi n’abasubuzi b’emmwanyi balumiriza nti waliwo abafere abaabulankanya ensimbi eziri eyo mu buwumbi ezaali ez’okutumbula emmwanyi mu ggwanga.
Annyonyodde nti enkulaakulana ya Uganda ezze ekulira ku bitundu 6.2 % mu bbanga ery’emyaka 37 egiyise, nga n’olwekyo tayinza kugumiikiriza bagizza mabega.
Uganda era eyongedde ku bungi bw’ebintu byetunda mu mawanga amalala naddala aga East Africa biweza ebitundu 43.5%, ate ebitundibwa mu Middle East biweza ebitundu 18.1%, mu Asia biri ebitundu 17.6% .
Enteekateeka ya Parish Development Model egenderera okwongera okusitula enkulaakulana, abantu akakadde 1.6 bebakaweebwa ensimbi, era ng’abazifunye bongedde okutondawo emirimu naddala mu bitundu kye Kigezi, Acholi ne Lango.
President Museven era asuubizza nti government yakwongera obuwumbi bwa sh 5 buli mwaka mu nteekateeka z’okuzza engulu eby’obulambuzi bya Uganda, okutuuka mu 2028.
Bisakiddwa: Ddungu Davis