Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza nti bwakweddukanyiza Amasiro g’e Kasubi, oluvannyuma lwékitongole kyÁmawanga amagatte ekyebyenjigiriza nÓbuwangwa ki UNESCO ku mwaka oguwedde okugagya ku lukalala lwebifo ebiri mu bulabe.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde amasiro gano, n’ategeeza nti enkola yÓkulabirira Amasiro yetoloolera nnyo ku kumanya ennono ,Obulombolombo nÓbuwangwa.
Katikkiro akinogaanyizza nti Amasiro ge Kasubi gawedde ebitundu 90% , nga gasigazzaayo emirimu mitono ddala, kyokka nga nagyo gyabwegendereza nnyo.
Ssentebe wÓlukiiko oluzzaawo Amasiro ge Kasubi Owek Alhaji Kaddu Kiberu, ategeezezza nti emirimu egisigalidde mitono nnyo, kyokka nga gya bwegendereza.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa