Mutabani wa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga ye Charles Bbaale Mayiga (CJ) ayanjuddwa munne Sonia Elizabeth Nabagereka.
Omukolo ogw’ekitiibwa gubadde ku kyalo Migadde Lukomera Katikamu mu ssaza lye Bulemeezi.
Omumyuka owokubiri owa Katilkiro wa Buganda Owek.Robert Waggwa Nsibirwa y’abadde omugabe akulembeddemu omutabani okumutuusa mu bakadde b’omwana omuwala.
Owek Robert Sserwanga minister,w’abavubuka emizannyizza n’ebitone, n’Omuk. Ben Ssekamatte nabo babawerekeddeko.#
: