President Yoweri Kaguta Museveni akakasizza nti Uganda eri mu nteekateeka ezisembayo okwevumbulira eddagala eriwonya n’okutangira okusiigibwa akawuka ka siriimu.
Museveni abadde ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’ okwefumiitiriza n’okujjukira abantu abafudde akawuka ka siriimu.
Emikolo gibadde mu district ye Rakai mu kisaawe kye Kibaale, naagamba nti ekitongole ekya Uganda Virus Research Institute, baliko webatuuse mu kunoonyereza ku ddagala erigema akawuka ka mukenenya.
Dr Daniel Kyabayinze kulwa ministry y’ebyobulamu agambye nti government ekoze ekisoboka okulwanyisa mukenenya era nti amakubo mangi agatereddwawo okulwanyisa akawuka okusaasaana mu baana abato abazaalibwa naddala nga bakaggya ku banyabwe.
Asabye abantu abawangaala nakawuka okwewala okuva ku ddagala bwebaba baagala okwewala okukasasaanya, nokukasiiga abaana bebayonsa.
Abasawo bagamba nti abaana abawala abali wakati w’emyaka 15 – 25 bangi bazuuliddwamu akawuka ka siriimu.
Omulamwa gw’omwaka guno gwesigamiziddwa ku buvunaanyibwa bwa buli muntu okubaako kyakola okulwanyisa siriimu.
Bisakiddwa: Ddungu Davis