Bannakyaddondwa bakiise embuga mu nkola ya luwalo lwange, baleese ensimbi ezisoba mu bukadde bwa shs 35.
Eggombolala bbiri okuli Mutuba IV Masekkati ne Mutuba V Kawempe zezikiise embuga.
Minister wa kabinenti, Olukiiko n’emirimu egy’enkizo mu office ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba y’abatikkudde oluwalo, n’asaba government okwongera ensimbi mu kukola enguudo z’ekibuga Kampala ekiri mu Kyadondo, kirekeraawo okuswaza eggwanga.
Owek. Kiyimba agambye nti enguudo ezisinga obungi mu Kampala zijjudde empoompogoma z’ebinnya eziviiriddeko obubenje okweyongera n’okuswaza ekibuga ekikulu.
Mu ngeri yeemu Owek. Noah Kiyimba asabye abagoba ba Taxi nga nabo beebamu ku bakiise embuga mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya UTOF okwongere okubeera aboobuvunaanyizibwa nga basaabaza banna Uganda, naddala mu biseera bino eby’eggandaalo n’okumalako omwaka bataase obulamu bwa bannansi okutokomokera mu bubenje.
Oluwalo lwetabiddwamu ne minister wa Kampala Hajjati Minsa Nnabbengo Kabanda abuulidde bannakampala nti ensimbi z’e nkola ya Parish Development Model zaatuuse era banna Kibuga mu ggombolola ez’enjawulo baatandise okuzifuna, nti nga negyezitannatuuka mu bbanga ttono baakuzifuna.
Omukwanaganya w’emirimu mu office ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjati Hadijah Nnamyalo nga yeetisse oluwalo lwa nsimbi obukadde bubiri, agambye nti balina enteekateeka y’okusisinkana abavubuka mu Kyaddondo okubayambako okwekulaakulanya.
Omwami w’essaza Kyaddondo Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu asabye banna Kyaddondwa okwongera amaanyi mu kugunjula abaana n’okubaagazisa okukola bakule nga balimu ensa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.