Government ya Uganda etongozza okugaba amabaati eri abawajjere mu kitundu kya Busoga agawerera ddala 90,411.
Amabaati gano gabalirirwamu obuwumbi bwa shs 4.
Abakulembeze bakubiriziddwa okukolera awamu okulaba ng’amabaati gano gatuuka gye galina okuwebwa.
Omukolo gw’okugatongoza gubadde ku kitebe kya district ye Jinja nga gukulembeddwamu minister omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’akanyigo ke Luweero Alice Kaboya .
Minister kaboyo ategezeza nti buli district mu Busoga yaakuwebwa amabaati 800.
Gakuwebwa amasomero agali mu mbeera embi, amalwaliro n’amasinzizo.
Amabaati gano gaweereddwayo okuyita mu wofiisi ya Ssaabaminister.
Bino webijidde ng’abakulembeze abenjawulo omuli ne ba minister battunka na misango gyakwekomya mabaati agaali galina okuwebwa abawejjere mu kitundu kye Kalamoja.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher