Omuyimbi Evelyn Nakabira amanyiddwa ennyo nga Evelyn Lagu ne Evelyn Love avudde mu bulamu bwensi eno ku myaka 41 egy’obukulu.
Evelyn Lagu abadde amaze ekiseera ng’atawanyiizibwa obulwadde bw’ensigo.
Afiiridde mu ddwaliro e Mulago ku ssaawa nga munaana ez’ekiro.
Evelyn Lagu yazaalibwa mu district ye Kalungu nga 01 June,1982.
Yasomerako ku Mityana SS ne Pride SS gyeyasomera ‘O’ Level, ate A’ level yagikolera ku St.Peters’ ss Busuubizi.
Ayimbye ennyimba eziwerako era ng’ezisinze okukwata abantu omubabiro ye;
– Ogumaanga yalufulumya mu 2017
-Mbuulira 2017
-Kasita Bakuleka 2017
– Ngukuwadde 2017
– Ssikyatya 2020
N’endala.