Kooti ewozesa bannamagye eyékibinja ekyokutaano mu district ye Agago ekalize musajja waayo Private Mukanja Micheal n’ekibonerezo kyakusibwa mayisa,emulanga kutta muntu mu bugenderevu.
Okusinziira ku Ssentebe wa kooti eno Col Ismail Ssendagire, omuserikale Mukanja yasasira Omol Justine amasasi agaamuttiraawo nga 31 May,.2023, oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya bwebaali ku kisaawe kyÓmupiira ekisangibwa ku kyalo Kokil mu gombolola ye Paimol.
Kooti era ekalize private Okello George emyaka 30 mu nkomyo, nga emulanga kukuba Odwel John Amasasi agaamulemaza, bwebaafuna obutakkaanya nga 27 August,2023.
Amasasi yagamukuba oluvannyuma lw’okulwanagana, baali mu gombolola ye Kato esangibwa mu district ye Agago.
Mungeri yeemu omuserikale omulala private Ssekajja Ivan akaligiddwa emyezi 14 nga musibe, oluvannyuma lwokulagajjalira ebintu byÁmagye omuli ebyambalo némmundu, nebisangibwa n’abantu abatali baserikale.
Emisango gino gyonna gisaliddwa mu lujjudde lwÁbantu mu bitundu gyegyazzibwa.
Ssentebe wa kooti y’amagye ey’ekibinja ekyokutaano Col Ssendagire alabudde nti UPDF tegenda kuleka basajja baayo basiiwuuke empisa ,bakukaangavvulwa okutuusa nga bayize okutambulira mu mateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis