Ministry ye nsonga za bakozi mu Uganda etegezezza nti okuwandiika abakozi abajja mu bitongole bya government yonna ne government ezébitundu mu ggwanga wakugira nga kulindako okutuusa nga ssababalirizi w’ebitabo bya government akoze alipoota ennambulukufu mu muwendo gwa bakozi bonna abali mu bitongole bino.
Gyebuvuddeko Ministry ye nsonga z’abakozi yalagira ssababalirizi we bitabo bya government okubala abakozi bonna mu ggwanga besasula omusaala, oluvanyuma lwókukizuula nti government esasula abakozi bangi abe Mpewo.
Kigambibwa nti nábamu kubankungu baagunjaawo Districts, námagombolola agempewo n’ekigendererwa okubbirako ensimbi za government.
Wano Ministry weyasinziira okuyimiriza okuwandiisa abakozi abajja bonna kati ebbanga erikunukkiriza mu mwaka.
Omuteesitesi omukulu mu Ministry y’ensonga za bakozi Catherine Bitalakwate gyebuvuddeko yategeeza nti abakozi ba government balina okuddamu okubalibwa, era nga bonna abataabalibwa mu buntu.
Kyokka webutuukidde kati nga bassentebe ba District ezenjawulo nga bakulembedwwa Sentebe wa District ye Nakaseke Ignatius Koomu balaajana oluvanyuma lwa government okuzimba amasomero amajja mu bitundu byabwe sso nga temuli wadde omusomesa ate tebakkirizibwa kuwandiisa bapya.
Sentebe wa District ye Buvuma Adrian Dungu ategezezza nti government yasuumusizza amalwaliro agawerako ku bizinga eby’enjawulo e Buvuma kyokka temuli wadde abasawo abagenda okugakolamu.
Catherin Bitalakwate omuteesitesi omukulu mu ministry ye nsonga zábakozi aegezezza nti okuwandiika kwakuddamu bunnambiro.
Bisakiddwa: Ssebuliba William