Abakulembeze mu District okuli Buduuda, Bulamburi saako District endala ezikosebwa okubumbuluka kw’ettaka ku lusozi Masaaba[Elgon] basobeddwa ekyókukola, olw’abantu mu bitundu bino abakyagaanye okuwebwa ensimbi obukadde 10m ne yiika y’ettaka okuva mu government, basobole okusenguka okwewala ekibaambulira ky’ettaka eritera okubumbulukuka buli nkuba lwetonnya.
Ekitongole ekirungamya embeera yóbudde mu ggwanga ekya Uganda National Meteorological Authority yalabudde government okukola ekisoboka okusengula abantu mu bitundu byonna ebyómunsozi, saako ebyo omutera okwanjaalira amazzi olwe nkuba emanyidwa nga EL NINO esuubirwa okutandika omwezi guno ogwa September okutuuka mu December 2023.
District ye Buduuda ne Bulambuli ezisinga okukosebwa okubumbulukuka kw’ettaka, ku bantu 2160 mu magombolola agenjawulo abaawebwa empapula zebalina okujjuza nga bakkiriza okusengulwa eza [Transfer Forms], abakulu bagamba nti abantu 5 bokka bebakassa emikono ku mpapula ezo era bebagenda okuwebwa obukadde bwa shs 10 ne yiika y’ettaka.
Abakulembeze ba District ye Buduuda nga bakulembeddwa Sentebe wa District eno Milton Kamooti bategezezza nti bali mu bweraliikirivu obutagambika olw’abantu abesisiggiriza okuva mu nsozi.
Wabula ssabaminister we ggwanga Robina Nabbanja Musafiiri agamba nti eyo ye nteekateeka yokka government gyerina okutaasa abantu abo ng’enkuba nenatandika.
Mu district eye Kasese abakulembeze nga bakulembedwa Omubaka wa government LT Joe Walusimbi batandise enteekateeka y’okusengula abantu abali ku mbalala z’omugga Nyamwamba ogusinga okubakosa.
Mu District ye Manafwa amyuka Omubaka wa government mu District eno Lukka Kagenyi ategezezza nti bamaze okusengula abantu bonna abali okumpi nómugga Manafwa nebatwalibwa mu bitundu ebirala.
Bisakiddwa: Ssebuliba William