Abantu 6 abaakwatibwa Police kubyokujjukizanga entakera president wa Uganda Yoweri Tibuhabulwa Museveni okutuukiriza ebisuubizo bye, kyaddaaki bafunye kubuweerero, kkooti ento e Fort Portal bwebagyeko omusango gwokukuba enkungaana mubumenyi bw’amateeka.
Baakulemberwamu Reverand Kintu Willy Muhanga ngono yaliko Mayor wekibuga Kya Fort Portal baakwatibwa mu March wa 2023, nebaggulwako omusango oluvannyuma nebayimbulwa ku kakalu.
Kyokka okuva olwo Oludda oluwaabi lwalemererwa okugenda mu kkooti wadde okuleeta obujulizi ku Bantu bano ekiwalirizza kkooti ento e Fort Portal ekulembeddwamu omulamuzi Daphine Ayebare okugoba omusango guno lwakubulwa bujulizi.
Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, bano 6 baakubanga enkungaana z’okusaba mu bitundu bye Fortportal nti naye ku katuuti nga basinga kujjukiza president Museveni okufaayo okutuukiriza ebisuubizo byeyakola eri abantu be Fort Portal bweyali awenjaayo akalulu k’bwa President.
Mu bisuubizo byeyakola okuva mu mwaka gwa 2012 kuliko okuzimba enguudo nokudaabiriza ebisaawe mu kitundu ekyo, nti wabula nga n’egyebuli eno teri kyali kikoleddwa, kyokka nti buli okuwenja akalulu bwekutuuka Omukulembeze weggwanga addamu ebisuubizo byebimu.
Bano olwegyerezeddwa bagambye webakoma webagenda okutandikira okujjukiza president okuyimirira ku bigambo bye natuukiriza byeyasuubiza abantu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam