Abasawo bebyobulamu mu gombolola eziri mu Busiro East mu Wakiso district bakoze ekikwekweto mwebakwatidde abantu 10, olw’obutaba na kabuyonjo ku bizimbe byabwe.
Ebizimbe ebiwerako nabyo biggaddwawo ebitabadde na kabuyonjo, olwa bannyibyo obutalabikako.
Musawo Hope Turinzirwe akulira ebyobulamu mu Wakiso Town council alabudde abantu abapangisa ku bizimbe okutali kabuyonjo, kyokka abamu nebasaako n’ebifo ebirirwamu emmere nti nabo boolekedde okukwatibwa.
Enteekateeka eno egendereddwamu okulwanyisa ebirwadde ebiva kukusaasaanya empitambi, naddala Cholera.#