Abantu 7 bebakakasibwa nti bafiiridde mu kabenje akagudde mu kabuga ke Myanzi mu District ye Kasanda, ku bantu 10 ababadde ku mmotoka efunye akabenje.
Babadde batambulira ku mmotoka kika kya Isuzu UAY 415V ebadde eva Mubenda ng’etisse emmere n’ebirime ebirala neremerera omugoba waayo nebawandagala nebagwira.
Abantu abalala abasoba 4 bateeberezebwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ka bus kika kya Jaguar No. UBF 736 G ebadde eva Rwanda, akabenje ekafunidde ku luguudo oluva e Ssembabule okudda e Gomba.
Akabenje ekafunidde mu mugga Kibimba wakati w’ekyalo Kirasi ne Kajumiro ku ssaawa nga 10 ez’ekiro.
Police ennawunyi ereese kabangali zaayo okuddusa abakoseddwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi. #