Ekitongole kya Aghakhan Foundation East Africa nga kiri wamu ne German Development bank, batonedde Uganda emmotoka bbiri ez’omulembe ezitereddwamu kalonda yenna akwata kukugema endwadde.
Emmotoka zino zikwasiddwa minister omubeezi ow’ebyobulamu Margret Muhanga n’akulira eby’obujanjabi mu ministry Dr. Henry Mwebesa.
Minister Muganga agambye nti emmotoka zino zakuyamba okutuuka ku bantu mu bitundu ebyenjawulo mu kawefube w’okugema abantu endwadde naddala abaana abato.#