Bannamawulire abakulembeddemu okulwanyisa obutali bwenkanya mu kibiina ekibatwala ekya Uganda Journalists Association UJA , bekubidde enduulu eri ebitongole bya government ebinoonyereza ku balyi b’enguzi mu ggwanga okunonyereza ku bakulembera ekibiina kino.
Bagamba nti baliko byebazudde ku bigambibwa nti abakikulembera bakozesa olukujjukujju nebafuna ssente ku lwa banamawulire, nga bayita mu Kibiina kino so ng’atte baakifuula dda Kampuni y’obwannyini.
Banamawulire okusaba kwabwe kuvudde ku omulamuzi gwa kkooti enkulu etawuluza enkayaana Musana Ssekaana okugoba omusango gwabwe gwabaali batwala mu kkooti nga bagala eyimirize okulonda okwali kutegekeddwa okw’ekibiina kya banamawulire ekya UJA, gyeyakabatemera nti tebalina lukusa lwonna okwemulugunya nakwebuuza ku bintu ebikolebwa mu UJA kubanga eri Kampuni ya bwanannyini
Mu mwezi gwa February omwaka guno, abamu ku bannamawulire abaali begwanyiza ebifo ebyenjawulo mu Kibiina kyabanawulire ekya UJA okwali Abubaker Lubowa eyali yegwanyiza ekya President wa UJA, ne Zambaali Bulasio Mukasa eyali yegwanyiza ekifo kya Ssabawandiiisi wa UJA n’abalala, baddukira mu kkooti nga bawakanya eky’abantu ssekinomu olw’okubawandula mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bukulembeze bw’ekibiina ewattali nsonga nnungamu ebawebwa.
Baasaba kkooti eyimirize entekateeka zonna ezaali zikolebwa ez’okulonda n’okukyuusa obukulembeze bw’ekibiina kya UJA.
Wabula omulamuzi Musana Ssekaana bweyali awa ensala ye mu musango guno, yategeeza nti banamauwulire abaddukira mu kkooti tebalina buyinza kubuuza bintu bikwata ku kibiina kya UJA kubanga tekyali Kibiina kya Lukale ekigatta banamawulire, wabula eri Kampuni y’obwanannyini erina ne ba Ddayirikita baayo abesalirawo ku nzirukanya ya kampuni yabwe era omusango nagugoba.
Mu lukungaana lw’abamuwulire lwebatuuzizza ku Centenary Park mu Kampala, banamawulire bano nga bakulembeddwamu Lubowa Abubaker ne Zambaali Bulasio Mukasa bagambye nti bagala ebitongole bya government ebinoonyereza ku balyi b’enguzi okunoonyereza ku bantu abali mu UJA, nti kubanga babadde bafuna ssente ku lwa banamauwulire ng’atte eri Kampuni y’obwananyini
Mu mbeera yemu Zambaali Bulasio Mukasa agambye nti baakizuula nti okuva ekibiina kya Uganda Journalists Association bwekyali kitandikibwawo mu mwaka gwa 1983 tekyali kampuni y’obwananyini.
Wabula bakizudde nti ng’ennaku z’omwezi 21 May 2021 abamu ku banamauwulire okwali Rukundo Mathias, Bayola Moses, Kabuye Ronald ne Joshua Kyalimpa, Isa Kigongo, Kiyimba Ronald ne Isa Kigongo baagenda mu Kitongole ekiwandiisa amakumpuni ekya URSB nebewandiisa nga ba Ddayirikita baayo.
Abubaker Lubowa agambye nti newankubadde tebaafuna kyebali bagala mu musango gwebatwaala mu kkooti naye yebaziza omulamuzi Musana Ssekaana olw’okwanika obuffere obuli mu Kibiina kya UJA, era nasaba banamauwulire okukimanya nti tebasobola kubuuza bintu bikolebwa mu Kampuni y’obwananyini eya UJA.
George Musisi munamateeka eyakulemberamu bannamawulire nga bagenda mu kkooti agambye nti newankubadde omulamuzi yagoba omusango guno ,naye gwasobola okwanika abantu ssekinomu abali mu Kibiina kya UJA abaakifuula Kampuni y’obwananyini
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico
Ebifaananyi: Ssendegeya Muhammad