Police egamba nti omuwendo gwa banna Uganda abakozesa ebiragalalagala gweyongera buli mwaka ate ng’abasinga bayizi b’amasomero.
Okusinziira ku Alipoota ya Police ekwata ku biragalagala, emisango egyekuusa ku biragalagala gyeyongedde okuva ku misango 1,668 egyaloopebwa mu mwaka 2021 okutuuka ku misango 2078 egyaloopebwa mu 2022.
Byanjuddwa akulira okulungamya eby’obufuzi mu Police ACP Namutebi Hadijjah , bwabadde akulembedemu okubangula abakulembeze b’abayizi okuva mu masomero agenjawulo abetabye mu lukungaana National Prefects conference ku Hotel Africana eyategekeddwa ekitongole kya Drugs Hapaana.
Lugendereddwamu okubangula abayizi ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala mu masomero.
ACP Namutebi Hadijjah agambye nti ekibeewunyisa kwekuba nti ku emisango 2078 egyaloopwa, emisango 156 gya baana abali wansi w’emyaka 18.
Minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu Dr.J.C Muyingo mu bubaka bwatisse Commissioner akulira ekitongole kya ministry ekibudaabuda n’okulungamya abaana Peace Busingye Ssabiiti mu kuggulawo omusomo guno, agambye nti ebitongole byonna birina okukwatagana ne ministry ne police saako ekitongole Kya Drugs Hapaana okutwala emisomo nga gino mu masomero gonna mu ggwanga okutangira ebikolwa bino.
Bisakiddwa: Ssebuliba William