Olwaleero ennaku z’omwezi ziri 16 June,2023 lwakukuza olunaku lw’omwana wa Africa, n’okwefumiitiriza kukusoomozebwa kwebayitamu.
Omulamwa gw’omwaka guno gukwata ku kukuuma eddembe ly’abaana mu kiseera kino eky’ebyempuliziganya ne technologia atambulira ku misinde egya yiriyiri (the rights of the child in the digital environment).
Abakulira ebitongole by’obwanakyewa bagala government esse essira kukusomesa n’okutaputa amateeka agenjawulo agakwata ku baana, abantu bagategeere bulungi balekeraawo okutyoboola eddembe ly’abaana.
Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu mu Greater Masaka Hajjat Shifa Kateregga agamba nti amateeka mangi gayisibwa naye bannansi tebagamanyi, ekiretedde abazadde n’abantu abalala kweyambisa okukozesa abaana mu bikolwa ebirinnyirira eddembe lyabwe.
Akulira ekitongole ekibudabuda abaana abgiddwa ku nguudo ki Child Restoration Outreach mu Uganda (CRO) Paul Nabiriti agamba government esaana eteeke amaanyi ku mateeka naddala agakwata ku bazadde abalagajjalira abaana nekibaleetera okugwera ku nguudo.
Atwala ekitongole ki Child Restoration Outreach ettabi ery’e Masaka Nkolenta Addah OJur ye atabukidde abakulembeze ba government ez’ebitundu ababaga amateeka agakwata ku baana, kyokka negatatekebwa munkola nekibaletera okubonabona.
Omwana wa Africa akyasaanga okusoomoozebwa mu mbeera zonna ezibakwatako omuli okusoma nga bangi batambula rngendo mpanvu, basiiba njala ku masomero saako okukubwa emiggo olutatadde.
Abaana bangi bakyakozesebwa emirimu egitagya mu myaka gyabwe ekiviiriddeko abamu okukona mu nkula yabwe n’endabika, okuyingizibwa mu bikolwa eby’obuyeekera, endya mbi, basula mu mpewo, abamu tebafuna mukisa kusoma, okusobezebwako n’embeera endala nnyingi ezitulugunya abaana.
Bisakiddwa : Derrick Jjuuko