Obubbi bw’emmwanyi obusitudde enkundi mu mu bendobendo ly’e Masaka buwalirizza abalina emisiri okupangisa abakuumi b’emmundu.
Police mu kitundu ekyo kumpi buli lunaku efuna omusango ogwekuusa ku bubbi bw’emmwanyi, ng’ezimu zibbibwa mu mayumba, okuzaanula ku nzigya nga zaanikiddwa ate abalala bazinoga mu nnimiro ekitadde abalimi ku bunkenke.
Ssentebe wa District ye Bukomansimbi Fred Nyenje Kayiira ategezezza nti obubbi bw’emmwanyi buyitiridde mu kitundu kye, nti kyekiwalirizza abalimi abamu okutandika okuleeta abakuumi b’emmundu okukuuma emisiri gyabwe.
Ssentebe wa District ye Kyotera Patrick Kintu Kissekulo agamba nti mu kitundukye okusobola okukendeeza obubbi, basazeewo okudda kuntekateeka yamayumnba kkumi .
Omwogezi wa police mu Greater Masaka Twaha Kasirye awadde amagezi eri abantu abemulugunya okutuukirira police mu bwangu okusobola okuyambibwa, era navumirira eky’abantu abawaaba emisango gy’obubbi bw’emmwanyi olumala nebagigyayo.
Ababbi be’emmwanyi ku misiri zebasanga zebanoga bawulula buwuluzi n’ebweziba tezinayengera bulungi, era bwebazibba ebbeeyi gyebasanga gyebazitunda.
Mu kiseera kino endebe y’emmwanyi ezaakanogebwa nga zimyuse bulungi zigula wakati wa shs 30,000 – 32000/=, emmwanyi enkalu endebe egula shs 45,000 – 47,000/=, ate eza Kase buli kilo eri wakati wa shs 8000 – 8500/=. #
Bisakiddwa: Derrick Jjuuko
Ebifaananyi: Ssozi Ssekimpi Lwazi