President Yoweri Kaguta Museveni asuubizza nti alina enteekateeka nnene ey’okuggya banna Uganda mu bwavu mwebeekuyengera, era násaba abantu obutatabika byabufuzi mu nkulaakulana.
President agambye nti aluubirira abantu bonna balekere awo okukola mmere ya leero, wabula bakole nga bafissa ne ku nsimbi.
Agambye nti government netegefu okukituukiriza mu buli kitundu kya ggwanga, nga kigenda kukolebwa kitundu ku kitundu.
Abadde Masaka ku kulambula kwaliko mu bbendobendo eryo okugenda okumala ennaku 3, nagamba nti ebyenkulaakulana tebisaana kutabiikirizibwamu byabufuzi, olwo abantu lwebajja okuganyulwa ekyenkanyi mu nteekateeka za government ez’okubaggya mu bwavu babeere mu bulamu obweyagaza.
Olukungaana olusoose mu Buddu President Museven alukubye ku Masaka Liberation Grounds nga lwetabiddwamu ebikonge bya NRM kyenkana byonna ne banna Buddu bangi ddala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K