Abantu abatanamanyika muwendo bateeberezebwa okuba nga baziikiddwa ettaka eribumbukukuse ku nsozi mu gombolola ye Murora mu district ye Kisoro.
Enkuba emaze ennaku ng’efudemba mu kitundu ekyo, eviiriddeko okubumbulukuka kw’ettaka neriziika amayumba.
Abaweereza mu kitongole kya Uganda Redcross Society n’abadduukirize abalala batuuse e Murora okutaakiriza abantu.#