Bannauganda 208 abaatasiddwa okuva mu Sudan ewali okulwanagana, basuubirwa okukomezebwawo olwaleero ku butaka okuva mu Ethiopia gyebaabadde babudamiziddwa okumala ennaku 2.
Ekibinja kya banaUganda bano kirimu abayizi ababadde basomera e Sudan, abasubuuzi, abamu abakozi ku Kitebe kya Uganda e Sudan ate n’abaddu ba Allah abaali bagenda ku Hijja e Mecca.
Okusinziira ku ministry y’ensonga z’amawanga amalala, baabadde basuubirwa okugibwayo olunaku olw’eggulo wabula tekyasobose olw’ekisaawe ky’ennyonyi ekyasoose okufunibwa okuba nga kyabadde kitono, ng’ennyonyi ya Uganda Airlines yabadde tesobola kukigwako.
Agavaayo galaga nti bus zibatutte mu kibuga Baidan era mu Ethiopia ewali ekisaawe ekirala ekineneko, balinze nnyonyi ya Uganda Airlines ebanone ebazze ku butaka.
okuva mu Sudan baakozesezza bus ezaabaggye ku Africa University ne ku kitebe kya Uganda e Khartoum nezibayingiza Ethiopia#