Abaami ba Kabaka ab’amagombolola baweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukubiriza abantu okwekebeza siriimu buli kadde.
Ssaabasajja yasiimye nebaweebwa entambula ya pikipiki ezaaguliddwa ku nsimbi ezaava mu misinde gy’amazaalibwa ge, babunyise obubaka mu bantu obukwata ku kwewala siriimu.
Ono yoomu ku kawefube w’okulwanyisa mukenenya omwaka 2030 gugende okutuuka ng’afuuse lufumo.#