Ab’enzikiriza ezisuusuuta Kristu abeegattira mu kibiina kya Uganda Joint Christian Council batadde government ku nninga esitukiremu etereeze ebizze bisoba mu ggwanga, ekozese amateeka agaliwo eggwanga lidde ku luguudo.
Bino babiyisizza mu bubaka bwabwe obw’amazuukira ga Kristu bwebaweeredde ku ntikko y’omukolo gw’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba ku ssomero lya Kampala Mukadde.
Bakulembeddwamu Ssentebe w’ekibiina kino era omwepisikoopi w’essaza lya Eklezia Katulika erya Kiyinda Mityana Rt. Rev Dr. Joseph Anthony Zziwa era baliko ensonga ez’enkizo zebanokoddeyo government zesaanye okukwata amavumbavumba.
Boogedde ku by’enjigiriza ebyongera okusereba buli olukya ekiviiriddeko abaana bangi obutamalaako kibiina kya musanvu.
Bategeezezza nti ekigootaanyizza ebyenjigiriza mu ggwanga, ye government yennyini okwesuulirayo ogwannaggamba okutereeza embeera y’amasomero gaayo naddala mu byalo, ensasula embi ey’abasomesa n’abayizi okusoma nga bayala.
Abasumba bano era beemulugunyirizza government olw’obutafaayo ng’obutonde bw’ensi busaanyizibwawo abakungu baayo bennyini.
Bawadde eky’okulabirako eky’abasima omusenyu mu nnyanja n’embalama zaazo wamu n’abantu abeefunyiridde okuzimba mu ntobazzi n’okusaanyawo ebibira.
Basabye ebitongole ebikwatibwako obutereevu ku nsonga zino okuli NEMA ne NFA okuggyayo n’agomubuto okukakasa ng’obutonde bwensi bukuumwa nga tebutyoboddwa kubanga amateeka agabukuuma weegali agamala.
Boogedde ku ddembe n’obutebenkevu byeboogeddeko ng’ensibuko y’obukulembeze obulungi, wabula nti mu ggwanga mukyalimu okusoomoozebwa nti eddembe n’obutebenkevu byogerwako bwogerwa.
Bagambye nti mu nsi omutali ddembe na butebenkevu, n’ebyenfuna byalyo tebisobola kukula kyebagambye nti ebbula lyabyo kyekireetedde n’eggwanga Uganda okulwawo okutuuka ku mutendera ogwa Middle Income.
Boogedde ku butali bwenkanya obwegiriisa mu ggwanga, ng’abagagga bangi banyigiriza abawejjere kyebasabye kitereezebwe ng’abakikola beekuba mu mitima.
Endooliito ku ttaka n’okusengula abantu ku ttaka lyabwe ku kifuba, bategeezezza nti ono naye akyali nnamuginga munene mu ggwanga, nga buli olukya waliwo abantu abasengulwa nga kino tekitalizza na bifo by’anzikiriza.
Bennyamidde olw’omulugube oguyitiridde mu bakulembeze gwebagambye nti gweguviiriddeko banna Uganda bangi obutatuusibwako buweereza.
Abasumba bano bategeezezza nti kibennyamiza nti ebitongole ebiteekeddwa okulwanyisa emize gino nga office ya kaliisoliiso wa government ne police omulimu gukyabalemye.
Mu mbeera eno basabye government eyolese omutima ogulumirirwa bannansi, abalyake bakwatibweko n’omukono ogwekyuma banna Uganda bafune obuweereza obutuufu.
Mu ngeri yeemu abasumba aba Uganda Joint Christian Council boogedde n’eddoboozi limu okuvumirira obugwenyufu naddala obufumbo obw’ebikukujju, bweboogeddeko nti si bwa Katonda nebeebaza Parliament mu ngeri eyenjawulo okuyimrira wakati mu kutiisibwatiisibwa nebayisa etteeka ekikugira omukwano ogwekivve.
Basabye president Museveni awe banna Uganda ekirabo asse omukono ku tteeka lino litandike okuluma, nebasaba banna Uganda n’abazadde okufaayo ku ntabula z’abaana baabwe okubeewaza ebikolwa bino.
Obubaka buno busomeddwa ssentebe wa UJCC Dr. Joseph Anthony Zziwa, omumyuka we ssaabasumba wa Orthodox Church Jeronymous Muzeeyi ne Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu.
Minister w’ensonga z’abakozi n’emirimu Betty Amongi y’akiikiridde government mu kusaba kuno.
Abakkiriza bakuza olunaku luno olw’okutaano olutukuvu, n’okutambuza ekkubo ly’omusaalaba ng’akaboneri ak’okujjukira n’okwefumiitiriza ku kubonaabona Yezu Kristu byeyayitamu, n’eyetikka omusaalaba kweyakomererwa anunule abantu okuva mu kibi.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.