Omulamuzi wa kkooti ya City Hall Jane Tibakunzika asindise musajja mukulu Eid Mohamood Zingo ow’emyaka 62 mu nkomyo, avunaanibwa kusobya ku bazzukulu basatu.
Zingo mutuuze w’e Bukoto Namuli zone, asomeddwa emisango 4 nga gyonna gyakusobya ku mabujje, ate ng’akimanyi bulungi nti alina akawuka akaleeta mukenenya.
Takkiriziddwa kubaako olw’emisango gye okuba egya Nnaggomola egiwulirwa kkooti enkulu.
Bazzukulu abamulumiriza okubakabasanya bali 3 kuliko ow’emyaka 3,6 ne 9.
Bazadde b’abaana bano babateeka ku ddagala lya PEP libayambeko okulwanyisa okukwatibwa akawuka.
Omulamuzi alagidde Zingo atwalibwe mu kkomera e Luzira okutuusa nga 25th omwezi guno ogwa April, era n’amuwa amagezi bwaba ayagala okweyimirirwa ateekemu okusabakwe mu kkooti enkulu kubanga yeyina obuyinza okukuwulira.
Kigambibwa emisango egyo musajjamukulu yagizza wakati wa 2020 ne March 2023 mu bitundu bye Bukoto.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam