Entiisa ebuutikidde abazadde n’abasomesa ku ssomero li Gloria Nursery and Primary school erisangibwa mu kabuga ke Kamusenene mu District ye Mityana, emotoka No. UAU 001V bwetomedde abaana 5 nga kuliko n’omusomesa ali olubuto, 3 ebattiddewo.
Okusinziira kubeerabiddeko ng’akabenje kagwawo bagamba nti abaana babadde batambulira mabbali g’ekkubo, emmotoka ebadde ewenyuuka ebavudde mabega n’ebasaabala.
Okusinziira ku Mutandisi w’essomero lino Ggayi Mukasa Habert abaana 3 bafudde, so nga n’omusomesa ali mu mbeera mbi wamu n’abaana abalala babiri.
Mu kiseera kino dereeva ne mukamaawe omuchina ababadde mu mmotoka etomedde abaana, bakuumirwa ku police y’e Bukuya.
Bisakiddwa: Membe John